Jump to content

Gideon Bagadawa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Gideon Bagadawa (Ogwokutaano 8, 1966 – Ogwomukaaga 21, 2021) yali Munnayuganda Munnabizinensi amanyikiddwa olw'emirimu gye mu Kkampuni z'obwannanyini mu Uganda. Era yali Dayilekita ow'okuntikko mu kibiina ekitaba bannabizinensi z'obwannanyini ekya Private Sector Foundation Uganda (PSFU). Mu kisanja kye. ekibiina ky'abwe kyafuna awaadi ez'enjawulo ezisiima emirimu egikoleddwa mu bibiina bya bizinensi, Kkampuni ez'amaanyi n'ebitongole bya Gavumenti eri enkulakulana mu Kkampuni ez'obwannanyini mu Uganda.[1][2]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Bagadawa yazaalibwa mu kyalo kye Muyiira, Ggombolola y'e Nambale, Disitulikiti y'e Iganga, mu Buvanjuba bwa Uganda.[1] Mu 1979 okutuusa 1983, yamaliriza emisomo gye egya O'levo ku Busoga College Mwiri ne A'levo ku Makerere College okuva mu 1984 okutuusa 1986.[1][3] Bagadawa yatikkirwa ku Ssettendekero wa Makerere mu 1988 ne Diguli esooka mu by'obubalirizi eya Bachelors degree in statistics.[3] Ye yongerayo mu misomo gye ku Ttendekero lya International Institute of Social Studies of Erasmus University mu Rotterdam, Netherlands, gye yafunira Diguli ey'okubiri mu by'enfuna eya master’s degree in development economics mu 1995.[1][3]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Okumala emyaka 21, Bagadawa yakola n'ekitongole kya Private Sector Foundation Uganda (PSFU) nga emyaka kkuminagumu kw'egyo yali aweereza nga Dayilekita ow'okuntiiko.[4] Nga tannaba kwegatta ku PSFU mu 2000, yali Dayilekita ow'okuntikko ow'ekitongola kya Uganda Manufacturers Association (UMA) okumala emyaka ebiri.[1]Ekisanja kye ku PSFU ky'alambibwa olw'emirimu mu kisaawe kya Kkampuni z'obwannanyini ng'omulungamya ku nsonga z'eby'enfuna n'amanyi g'eyasaamu mu kutumbula n'okuvuganya mu kkampuni ez'enjawulo n'enkulakulana saako n'okussa essira mu kumalawo obutabanguko n'okutulugunyizibwa okusinzira ku kikula.[5][6] Yasikizibwa Francis Kisirinya nga Dayilekita w'ekibiina ekitaba abasuubuzi ekya Private Sector Foundation Uganda (PSFU) oluvanyuma lw'okufa kwe.[5][7]

By'eyakola saako n'ebyeyafuna

[kyusa | edit source]

Wansi w'obukulembeze bwa Bagadawa, ekibiina kya PSFU kyakola omulimu munene mu kawefube ow'enjawulo nga "Tugobe Corona, Wear a Mask" kaweefube eyagenderera okulwanyisa n'okukomya ensaasanya y'ekirwadde ki lumiimamawuggwe ekya COVID-19. Y'akkatiriza omugaso oguli mu kugoberera eby'ali bitekeddwa okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 Standard Operating Procedures (SOPs) okusobozesa emirimu okugenda mu maaso n'ebyobulamu eby'abantu bonna.[8] Bagadawa yali muwagizi lukulwe eri pulojekiti y'okutondawo emirimu mu kisaawe ky'okusima amafuta ne Gaasi mu Uganda, ng'essira yalissa mu kutendeka Bannayuganda okwewangulira emikisa egyali gibalindiridde.[9]

Okufa kwe

[kyusa | edit source]

Bagadawa y'afa nga 21, Ogwomukaaga, 2021, mu Ddwaliro ekkulu erya Mulago Hospital oluvanyuma lw'okukwatibwa ekirwadde ki lumiimamawuggwe ekya COVID-19.[10]

Ebyali bimukwatako eby'omunda

[kyusa | edit source]

Yali mufumbo eri Susan Birungi era abafumbo bano baalina abaana ab'obuwala babiri, Anita ne Nina Bagadawa.

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 https://www.bukedde.co.ug/articledetails/NV_106823 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/business/finance/private-sector-body-awards-outstanding-members-1640134
  3. 3.0 3.1 3.2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1
  4. https://chimpreports.com/francis-kisirinya-replaces-late-badagawa-at-psfu/
  5. 5.0 5.1 https://dailyexpress.co.ug/2021/07/01/psfus-francis-kisirinya-replaces-late-badagawa-as-acting-ed/
  6. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_106671
  7. https://chimpreports.com/francis-kisirinya-replaces-late-badagawa-at-psfu/
  8. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/more-than-100-000-jobs-to-be-created-in-uganda-s-oil-sector-1571200
  10. https://www.independent.co.ug/gideon-badagawa-end-of-an-era/